Essanyu Ly’okuweereza MUKAMA
“Era nate kubanga ntadde okwagala kwange ku nnyumba ya Katonda wange, obugagga bwange ku bwange obwa zaabu ne ffeeza, mbuwa ennyumba ya Katonda wange… Awo abantu ne basanyuka… kubanga baawaayo ku bwabwe eri Mukama n'omutima ogutuukiridde: era ne Dawudi kabaka n'asanyuka essanyu ddene.” (Ebyomumirembe 29:3,9)
Mbaanirizza nnyo!
Ebizimbe ebiwangaazi tebizimbibwa na bizimbisibwa bya muzinzi, wabula okwagala n’okweweerayo ddala eri Katonda. Tuli mu biro eby’okumaliriza ekizimbe kya Kakumba Chapel ekkungaaniro ly’essinzizo lyaffe, era ekinaatusobozesa okutuuka ku buwanguzi n’abaliddawo batutende, kwe kuwaayo okuva mu kwagala n’okwewayo nga tusinza. Nsiima emirimu egy’akolebwa abaweereza abansookawo, abamyuka baabwe n’abasabi bonna be baaweerezanga nabo - baakola omulimu gwa ttendo. Kati luwalo lwaffe okulaga omukwano n’obwesigwa eri Katonda.
Nga bwe tutunuulira okuzimba, tulina okutwala eky’okulabirako ky’obwesigwa obw’okwagala kye tulaba mu bujulizi bwa Kabaka Daudi nga tannawumula. Yakungaanya ettoffaali mu bantu be, kyokka n’agenda mu maaso okwolesa okwagala kwe eri Katonda ng’awaayo eby’omuwendo, ku lw’omulimu gw’okuzimba essinzizo. Mu bujulizi bwa Daudi mulimu eby’okuyiga eby’omugaso bibiri: ekisooka, omulimu gw’obuwangaazi gulina okugabirirwa n’okuwaayo eby’omuwendo bye tulina. Ekyokubiri, okwagala n’okweweerayo ddala eri Katonda tebikoma ku tuyamba kukula wano kunsi wokka, wabula bilina n’empeera ey’olubeerera; nga bwetusoma ku Daudi leero, kyokka nga wayiseewo enkumi n’enkumi z’emyaka kiraga nti empeera eri abo abagaala Mukama n’omutima gwabwe gwonna teggwaawo – eryo ly’essanyu ly’okweereza Katonda.
Essinzizo eryazimbibwa Sulemani lyali lya muwendo nnyo era nga ggumu nnyo okumala ebyasa n’ebyasa, naye nga kino kyava ku kwagala kw’abantu eri Katonda. Abantu wamu n’abakulembeze baabwe bwe baakyama ne baabublira Katonda ate nebagaana okwenenya wadde nga baawabulwa ba nnabbi, essinzizo ne lisaanawo. Wadde nga lyali limaze ebyeya n’ebisiibo, teryasobola kusigalawo ng’obwesigwa eri Katonda buweddewo.
Mu ssaala y’okutukuza essinzizo, Kabaka Sulemani yakkiriza nti Katonda tabeera mu masinzizo amatono agazimbiddwa emikono gy’abantu; naye tekyamulobera kusaba Katonda akkirize ateeke erinnya lye mu ssinzizo - nga kino kyali kisobola kubaawo ng’abantu abeewaddeyo banyweeredde mu kusiinza okw’obutuukirivu n’obuwulize (2Ebyomumirembe 6:18-20). Tukole buli kisoboka okuleeta ensimbi, ebirabo, ebikozesebwa na buli kyonna ekinaazimba ekifo kino; tukuze obwesigwa bwaffe eri Katonda - mu kusinza ne mukukungaana; bye tuzimba olwo bijja kuba byabuwangaazi, era n’obulamu bwaffe buwanirirwe olubeerera - mu ssanyu n’emirembe eby’olubeerera.
Mukama abawe omukisa mwenna.